Jeremiah 44:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tujja kukola byonna bye twagamba okukola: okunyookeza Nnaabakyala w'Eggulu obubaani n'okumuyiira ebitambiro nga ffe ne bajjajjaffe bwe twakolanga, era nga bakabaka baffe n'abakungu baffe bwe baakolanga mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yeruzaalemu. Mu bbanga eryo twalina emmere nnyingi, nga tuli bulungi era nga tetugwirwa kabi na kamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tujja kukola byonna bye twagambye okukola. Tujja kwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, tuweeyo n’ebiweebwayo ebyokunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bakitaffe, ne bakabaka baffe n’abakungu baffe mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo z’e Yerusaalemi. Mu biseera ebyo twalina emmere nnyingi era nga tuli bulungi nga tetutuukibwako kabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tulikola buli kintu kye tweyama okukola, okwoterezanga obubaane kabaka w'eggulu omukazi, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; kubanga olwo lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tujja kwongera okukola ebyo bye tweyama okukola. Tujja kwoterezanga obubaane lubaale nnaabakyala w'eggulu, era tunaamufukiranga ebiweebwayo ebyokunywa, nga ffe ne bajjajjaffe ne bassekabaka baffe, n'abakungu baffe, bwe twakolanga mu bibuga bya Buyudaaya ne mu nguudo za Yerusaalemu, kubanga olwo lwe twabanga n'ebyokulya ebingi, ne tuba bulungi, awatali bitutawaanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tetulirema kutuukiriza buli kigambo ekyakava mu kamwa kaffe, okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa nga bwe twakolanga, ffe ne bajjajjaffe, bassekabaka baffe n'abakungu baffe, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi: kubanga lwe twabanga n'eby'okulya ebingi, ne tuba bulungi ne tutalaba bubi.