Jeremiah 44:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye okuva lwe twakoma okunyookeza Nnaabakyala w'Eggulu obubaani n'okumuweereza ebitone eby'okuyiwa, tetukyalina kantu na kamu, era tufa ekitala n'enjala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okuva lwe twalekeraawo okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane, n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa, tetubadde na kantu konna era tubadde tuzikirira n’ekitala n’enjala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kasookedde tulekayo okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tubadde mu kudaaga, n'okumalibwawo ekitala n'enjala.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye okuva lwe twalekayo okwotereza obubaane lubaale nnaabakyala w'eggulu, n'okumufukira ebiweebwayo ebyokunywa, tetukyalina kantu, era abantu baffe bafiiridde mu lutalo oba bafudde enjala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kasookedde tulekayo okwotereza kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tubadde mu kwetaaga n'okumalibwawo ekitala n'enjala.