Jeremiah 44:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakazi ne bongerako nti: “Bwe twanyookeza Nnaabakyala w'Eggulu obubaani ne tumuweereza n'ebitone eby'okuyiwa, babbaffe baali tebakimanyi nti tumufumbira obugaati mu kifaananyi kye era nga tumuweereza ebitone eby'okuyiwa?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa, abaami baffe tebaamanya nti twali tumukolera obugaati obuliko ekifaananyi kye ne tumuwa n’ekiweebwayo ekyokunywa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi ne bongerako nti, “Bwe twayoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, tekwali nga kukkiriza kwa babbaffe bwe twafumbanga emigaati egiriko ekifaananyi kye, n'okumufukira ebiweebwayo eby'okunywa?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakazi ne bongerako nti: “Bwe twafumbanga emigaati egiwumbiddwa mu kifaananyi kya lubaale nnaabakyala w'eggulu, ne tumwotereza obubaane, era ne tumufukira ebiweebwayo ebyokunywa, babbaffe baabangawo nga bawagira bye tukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe twayoterezanga kakabaka w'eggulu omukazi obubaane ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa, twamufumbira emigaati okumusinza ne tumufukira ebiweebwayo eby'okunywa awatali babbaffe?