Jeremiah 44:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Mwalaba akabi konna ke naleetera Yeruzaalemu n'ebibuga byonna ebya Yuda; kati byonna, matongo, temukyali asulamu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mwalaba ekikangabwa ekinene kye naleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda. Leero matongo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti, Mulabye obubi bwonna bwe nnaleeta ku Yerusaalemi ne ku bibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero byonna matongo, so tewali muntu abibeeramu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli n'agamba nti: “Mulabye akabi ke natuusa ku Yerusaalemu ne ku bibuga ebirala byonna ebya Buyudaaya. N'okutuusa kaakano byasigala matongo, tewali muntu abibeeramu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulabye obubi bwonna bwe naleeta ku Yerusaalemi ne ku kibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero matongo, so tewali muntu abeera omwo;