Jeremiah 44:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebitambiro bye mwatambirira mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo z'omu Yeruzaalemu, mmwe, bajjajjammwe, bakabaka bammwe, abakungu bammwe ne bannansi baayo, ebyo Omukama teyabijjukira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obubaane bwammwe bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, mmwe ne bakitammwe, ne bakabaka bammwe, n’abakungu n’abantu bonna mu nsi, ebyo Mukama si bye yajjukira n’alowoozaako?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, ne bassekabaka bammwe, n'abakungu bammwe, n'abantu bonna ab'omu nsi, mulowooza nti Mukama taabujjukira era tekyajja mu mwoyo gwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu mmwe ne bajjajjammwe, ne bassekabaka bammwe, n'abakungu bammwe, n'abantu ab'omu ggwanga, mulowooza nti Mukama teyabumanya, oba nti yabwerabira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, bassekabaka bammwe n'abakungu bammwe, n'abantu ab'omu nsi, Mukama teyabajjukira, so tekyajja mu mwoyo gwe?