Jeremiah 44:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kulaba nti Omukama yali takyasobola kugumiikiriza bubi bwa bikolwa byammwe n'ebyenyinyalwa bye mwakola; ensi yammwe n'efuuka eddungu, amatongo, ekikolimo, omutali asulamu nga bw'eri olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi n’eby’emizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo n’ekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yali takyayinza kugumiikiriza bibi byammwe, n'emizizo gye mwakola; ensi yammwe kyevudde efuuka amatongo, n'ekyewuunyo n'ekikolimo, nga tewali agituulamu, nga bwe kiri leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'okutuusa ku lunaku lwaleero, ensi yammwe yasigala matongo, nga tewali agibeeramu. Efuuse kyenyinyalwa era ekinyoomebwa. Abantu bagivuma era bagiyita kikolimo, kubanga Mukama yali takyayinza kugumiikiriza bibi byammwe n'ebyenyinyalwa bye mwakolanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okuyinza Mukama n'atayinza kuzibiikiriza nate olw'obubi obw'ebikolwa byammwe n'olw'emizizo gye mwakola; ensi yammwe kyevudde efuuka amatongo n'ekyewuunyo n'ekikolimo, nga tewali agituulamu, nga bwe kiri leero.