Jeremiah 44:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mwanyookeza obubaani ne musobya eri Omukama, ne mutawulira ddoboozi lya Mukama, ne mutatambulira mu tteeka lye, mu biragiro bye, ne mutagoberera by'ayigiriza, akabi kano kyekavudde kabagwira, nga bwe kiri olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama, era temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye, wadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akabi kano ke mulimu, kabaguddeko kubanga mwayotereza balubaale obubaane, ne munyiiza Mukama, nga mugaana okukolera ku mateeka ge, ne ku ebyo byonna bye yabalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama so temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye newakubadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero.