Jeremiah 44:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeremiya n'agamba abantu bonna n'abakazi bonna nti: “Yuda wenna ali mu nsi y'e Misiri, muwulire ekigambo ky'Omukama:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeremiya n’agamba abantu bonna, ng’ogasseeko abakazi nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda, abantu mwenna aba Yuda mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Yeremiya n'agamba abantu bonna, n'abakazi bonna nti, “Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne ntegeeza abantu bonna, naddala abakazi, ebyo Mukama by'agamba abantu b'omu Buyudaaya abali mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Yeremiya n'agamba abantu bonna n'abakazi bonna nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri: