Jeremiah 44:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Mmwe ne bakazi bammwe mwayogera n'akamwa kammwe, ne mutuukiriza n'emikono gyammwe kye mwagamba nti: “Tujja kutuukiriza obweyamo bwe twakola obw'okunyookeza Nnaabakyala w'Eggulu obubaani n'okumuweereza ebitone eby'okuyiwa.” Mukale, mukole bye mwetema, mutuukirize bye mweyama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, mmwe ne bakazi bammwe mulaze mu bikolwa byammwe ebyo bye mwasuubiza nti, ‘Tujja kukola nga bwe tweyama okwotereza kabaka omukazi ow’eggulu obubaane era n’okumuwa ekiweebwayo ekyokunywa.’ “Mugende mu maaso, mukole bye mwasuubiza! Mutuukirize obweyamo bwammwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mmwe ne bakazi bammwe mulangiridde n'emimwa gyammwe, era mukituukirizza n'emikono gyammwe, nga mwogera nti, Tetulirema kutuukiriza bweyamo bwaffe bwe tweyama okwoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukiranga ebiweebwayo eby'okunywa. Kale mukakase obweyamo bwammwe era mutuukirize obweyamo bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: “Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Mmwe, ne bakazi bammwe, mukoze obweyamo eri nnaabakyala w'eggulu nti munaamwoterezanga obubaane, era munaamufukiranga ebiweebwayo ebyokunywa.’ Kale mukole bye musuubizza. Mutuukirize obweyamo bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mmwe ne bakazi bammwe mwogedde n'obumwa era mukituukirizza n'emikono gyammwe, nga mwogera nti Tetulirema kutuukiriza bweyamo bwaffe bwe tweyama okwoterezanga kabaka w'eggulu omukazi obubaane n'okumufukiranga ebiweebwayo eby'okunywa: kale munyweze obweyamo bwammwe era mutuukirize obweyamo bwammwe.