Jeremiah 44:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka muwulire Omukama ky'agamba, ggwe Yuda wenna ali mu nsi y'e Misiri: ‘Ndayidde erinnya lyange ekkulu,’ Omukama y'agamba, ‘erinnya lyange teririddayo kwatulibwa mu kamwa ka muntu yenna owa Yuda mu Misiri yonna nti: “Mazima Omukama Katonda nga mulamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe Abayudaaya mwenna abali mu Misiri. ‘Ndayira mu linnya lyange ekkulu,’ bw’ayogera Mukama nti, ‘Tewali n’omu ku abo abaava mu Yuda ababeera mu Misiri, aliddayo okuyita erinnya lyange wadde okulayira nti, “Nga Mukama Katonda bw’ali omulamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mmwenna abantu ba Yuda ababeera mu nsi y'e Misiri; laba, ndayidde erinnya lyange ekkulu, bw'ayogera Mukama, ng'erinnya lyange terikyakoowoolwa nate mu kamwa k'omuntu yenna owa Yuda mu nsi yonna ey'e Misiri, ng'ayogera nti,‘ Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mwenna Abayisirayeli abali mu nsi y'e Misiri, muwulire kye nneeyamye mu linnya lyange ekkulu. Siriddayo kukkiriza n'omu ku mmwe ab'omu Buyudaaya abali mu nsi y'e Misiri, kulayira linnya lyange ng'agamba nti: ‘Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda ababeera mu nsi y'e Misiri: laba, ndayidde erinnya lyange ekkulu, bw'ayogera Mukama, ng'erinnya lyange teririyitibwa nate mu kamwa k'omuntu yenna owa Yuda mu nsi yonna ey'e Misiri, ng'ayogera nti Nga Mukama Katonda bw'ali omulamu.