Jeremiah 44:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mbakuumirira lwa kabi sso si lwa bulungi. Abantu bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri, bagenda kufa ekitala n'enjala, okutuusa nga bonna bazikiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mbawaddeyo eri akabi, si lwa bulungi; Abayudaaya abali mu Misiri balimalibwawo n’ekitala n’enjala okutuusa bonna lwe baliggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, mbalabirira olw'obubi so si lwa bulungi; n'abasajja bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri balimalibwawo ekitala, n'enjala okutuusa lwe baliggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibatuusaako kabi, sso si birungi. Abasajja bonna Abayisirayeli abali mu nsi y'e Misiri, balifiira mu lutalo, oba balifa endwadde, okutuusa lwe baliggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, mbalabirira olw'obubi so si lwa bulungi: n'abasajja bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri balimalibwayo ekitala n'enjala, okutuusa lwe baliggwaawo.