Jeremiah 44:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaliba bawonye ekitala, ne bava mu nsi y'e Misiri ne baddayo mu nsi ya Yuda baliba ba muswaba. Abaliba basigaddewo mu Yuda abajja okubeera mu nsi y'e Misiri balimanya ky'ani ekigambo ekirituukirira, ekyange oba ekyabwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaliwona ekitala ne baddayo mu Yuda okuva e Misiri baliba batono nnyo. Olwo abalisigalawo bonna okuva mu Yuda abajja okubeera mu Misiri, balitegeera ekigambo ekirikola, ekyange oba ekyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abaliwona ekitala balikomawo okuva mu nsi y'e Misiri ne bajja mu nsi ya Yuda, omuwendo gwabwe nga mutono; n'ekitundu kyonna ekya Yuda abaliba basigaddewo, balimanya kigambo kyani ekiriyimirira, ekyange oba ebyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abatono ku mmwe baliwona okufa ne bava mu Misiri, ne baddayo mu Buyudaaya. Olwo abaliba basigaddewo, balimanya oba ng'ebigambo ebyange bye bituukiridde, oba ebyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaliwona ekitala balikomawo okuva mu nsi y'e Misiri ne bajja mu nsi ya Yuda, omuwendo gwabwe nga mutono; n'ekitundu kyonna ekya Yuda abagenze mu nsi y'e Misiri okubeera omwo balimanya oyo bw'ali ekigambo kye kye kiriyimirira, ekyange oba ekyabwe.