Jeremiah 44:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Kano ke kaliba akabonero,’ Omukama y'agamba, ‘kwe munaakakasiza nga bwe ndibabonereza mu kifo kino, olwo mulitegeera nti ebigambo byange ebibawerera akabi bya kutuukirira ddala.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kano ke kanaabeera akabonero gye muli nti ndibabonerereza mu kifo kino,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mulyoke mumanye nga okulabula kwange okw’okubabonereza kujja kutuukirira.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bwayogera Mukama nga ndibabonereza mu kifo kino mulyoke mumanye ng'ebigambo byange, tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama, nja kubawa akabonero kwe munaakakasiza nga bwe ŋŋenda okubabonereza mu kifo kino, era ng'ebigambo byange, ebirangirira akabi ke ndibatuusaako mmwe, bya kutuukirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bw'ayogera Mukama, nga ndibabonereza mu kifo kino, mulyoke mumanye ng'ebigambo byange tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi: