Jeremiah 44:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
lwa kubeera bikolwa byabwe ebibi bye baakola. Bannyiiza olw'okunyookeza obubaani balubaale be batamanyangako n'okubasinza, bo, mmwe ne bajjajjammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olw’ebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olw’okwotereza bakatonda abalala obubaane n’okusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olw'obubi bwabwe bwe baakola okunsomooza okusunguwala, kubanga baagenda okwoteza obubaane n'okuweereza bakatonda abalala bo bennyini be batamanyanga, newakubadde mmwe, wadde bajjajjammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abantu baamu baakola ebibi, ne bansunguwaza nga bootereza balubaale obubaane, era nga baweereza balubaale abo, bo bennyini be batamanyangako, newaakubadde mmwe, wadde bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'obubi bwabwe bwe bakoze okunsunguwaza, kubanga baagenda okwoteza obubaane n'okuweereza bakatonda abalala be batamanyanga bo newaakubadde mmwe newakubadde bajjajjammwe.