Jeremiah 44:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: ‘Nzija kuwaayo Faraawo Kofura kabaka w'e Misiri mu mikono gy'abalabe be abanoonya obulamu bwe, nga bwe nawaayo Zedekiya kabaka wa Yuda mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, omulabe we eyali anoonya obulamu bwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ŋŋenda kuwaayo Falaawo Kofera kabaka w’e Misiri eri abalabe be abanoonya okumutta, nga bwe n’awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, omulabe eyamunoonya okumutta.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe n'awaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni omulabe we era eyali anoonya obulamu bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kuwaayo Hofera kabaka wa Misiri mu mikono gy'abalabe be abaagala okumutta, nga bwe nawaayo Zeddeekiya kabaka wa Buyudaaya, mu mikono gya Nebukadunezzari, kabaka wa Babilooniya, omulabe we era eyali ayagala okumutta.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe nnawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omulabe we era eyanoonya obulamu bwe.