Jeremiah 44:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabatumiranga buli olukedde abaweereza bange abalanzi abaabagambanga nti: “Temukola kyenyinyalwa kyenkana awo kye nkyawa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emirundi mingi natuma abaddu bange bannabbi, abaabagamba nti, ‘Temukola bintu bino eby’omuzizo bye nkyawa!’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era naye nnabatumiranga abaddu bange bonna bannabbi, obutasalako, nga njogera nti, ‘Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa!’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabatumiranga abaweereza bange abalanzi obutasalako, okubategeeza nti ‘Temukola kintu ekyo ekyenyinyalwa kye nkyawa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa.