Jeremiah 44:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo tebaawuliriza yadde okussaayo omwoyo; tebaava mu bibi byabwe era tebaalekera awo kunyookeza balubaale bubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye tebaawulira wadde okufaayo; tebaalekayo mpisa zaabwe embi wadde okulekayo okwotereza bakatonda abalala obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bo ne batawuliriza so tebaatega kutu, okukyuka okuleka obubi bwabwe, obutayoterezanga bakatonda abalala obubaane.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne batawuliriza, era ne batassaayo mwoyo kulekayo bibi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batawuliriza so tebaatega kutu okukyuka okuleka obubi bwabwe, obutayoterezanga bakatonda abalala obubaane.