Jeremiah 44:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama, Katonda w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Lwaki mwesombera akabi akenkana awo ne mukutulwako mu mmwe abasajja n'abakazi, abato n'abayonka, ne muteerekerawo baasigalawo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale kaakano bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Lwaki mweretako akabi akanene bwe kati nga musala ku Yuda abasajja n’abakazi, n’abaana abato n’abawere aba Yuda ne mutalekaawo muntu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ababuuza bw'ati nti, Lwaki mwekolako ekibi ekyenkana awo, okuzikiriza wakati mu mmwe omusajja n'omukazi, omwana omuto n'ayonka, okuva mu Yuda, waleme kusigalawo n'omu ku b'olulyo lwammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale Nze Mukama, Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, kaakano mbabuuza mmwe nti: ‘Lwaki mwesombera akabi akenkanidde awo obunene? Lwaki mwagala okuzikiriza abasajja, n'abakazi, n'abaana abato, n'abawere, waleme kusigalawo n'omu ku b'olulyo lwammwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw’ati nti Kiki ekibakoza ekibi ekyenkana awo okwonoona emmeeme zammwe mmwe, okwemalirawo omusajja n'omukazi, omwana n'ayonka, wakati mu Yuda, obutabalekera abasigalawo;