Jeremiah 44:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki munnyiiza n'ebyo emikono gyammwe bye gyakola, nga munyookeza balubaale obubaani mu nsi y'e Misiri gye muzze okubeera? Mujja kwezikiriza, mwefuule ekikolimo n'ekivumo mu mawanga gonna ag'oku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki munsunguwaza olw’ebyo emikono gyammwe bye gikoze, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane e Misiri, gye mwajja okubeera? Mujja kwezikiriza mufuuke eky’omuzizo n’eky’okukolimirwa mu mawanga gonna ag’omu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki munsomoza okusunguwala olw'emirimu egy'emikono gyammwe, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane mu nsi y'e Misiri gye mwagenda okubeera? Mukola bwe mutyo, mulyoke mumalibwewo, era mubeere ekikolimo n'ekivume mu mawanga gonna ag'omu nsi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki munsunguwaza olw'ebyo bye mukola, nga musinza balubaale mu nsi y'e Misiri gye mwajja okubeeramu? Lwaki mukola bwe mutyo, okwezikiriza, n'okunyoomebwa, era n'okuvumibwa ab'omu mawanga gonna ku nsi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga munsunguwaza n'emirimu egy'emikono gyammwe, nga mwotereza bakatonda abalala obubaane mu nsi y'e Misiri gye mwagenda okubeera; mulyoke mumalibwewo, era mubeere ekikolimo n'ekivume mu mawanga gonna ag'omu nsi?