Jeremiah 44:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwerabidde ebibi bya bakadde bammwe, n'ebya bakabaka ba Yuda ne bakazi baabwe, n'ebyammwe mwennyini n'ebya bakazi bammwe, bye baakola mu nsi ya Yuda ne mu makubo ga Yeruzaalemu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwerabidde ebibi bakitammwe ne bakabaka ba Yuda ne bakazi bammwe bye baakola era n’ebibi bye mwakola mmwe ne bakazi bammwe mu nsi ya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwerabidde obubi bwa bajjajjammwe, n'obubi bwa bassekabaka ba Yuda, n'obubi bwa bakazi baabwe, obubi bwammwe, n'obubi bwa bakazi bammwe bwe baakolera mu nsi ya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwerabidde ebibi byonna bajjajjammwe ne bassekabaka ba Buyudaaya ne bakazi baabwe, ne bakazi bammwe bye baakolera mu bibuga bya Buyudaaya, ne mu nguudo za Yerusaalemu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwerabidde obubi bwa bajjajjammwe n'obubi bwa bassekabaka ba Yuda n'obubi bw'abakazi baabwe n'obubi bwammwe mmwe n'obubi bw'abakazi bammwe bwe baakolera mu nsi ya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi?