Jeremiah 45:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo Yeremiya omulanzi kye yagamba Baruku mutabani wa Neriya, mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baruku amaze okuwandiika mu kitabo ebigambo Yeremiya bye yamugambanga:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kigambo nnabbi Yeremiya kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baluki amaze okuwandiika ku muzingo nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya, bwe yawandiika ebigambo bino mu kitabo ng'aggya mu bigambo Yeremiya bye yamugamba mu mwaka ogwokuna nga Yekoyakimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Yuda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu mutabani wa Yosiya ye kabaka wa Buyudaaya, Baruku n'awandiika ebigambo nga bwe nabimugamba. Awo ne ŋŋamba Baruku oyo nti
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya bwe yawandiika ebigambo bino mu kitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti