Jeremiah 45:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wagamba nti: ‘Zinsanze! kubanga Omukama ku nnaku zange agasseeko obulumi; mpweddemu otwanyi olw'okuwoloma; sirina buweerero.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda n’obutawummula.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wayogera nti, Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wagamba nti: ‘Zinsanze, kubanga Mukama annyongedde obuyinike ku kubonaabona. Okusinda kwange kunkooyezza, era sifuna kiwummulo n'akatono!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna.