Jeremiah 45:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino by'oba omugamba: ‘Omukama kino ky'agamba: Nzija kuzimbulula kye nazimba; nzija kusimbula kye nasimba mu nsi eno yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yagamba nti, “Mugambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'oti bw'oba omugamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kye nnasimba ndikisimbula; era bwe ndikola bwe ntyo mu nsi yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Nze Mukama, nzimbulula kye nazimba, era nsimbula kye nasimba. Nja kukola bwe ntyo mu nsi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'oti bw'oba omugamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ekyo kye nnazimba ndikyabya, n'ekyo kge nnasimba ndikisimbula; era ndikola bwe ntyo mu nsi yonna.