Jeremiah 45:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weenoonyeza bikulu? Tobinoonya, kubanga nzija kuleetera abantu bonna akabi, Omukama y'agamba, naye ggwe yonna gy'onoolaga ojja kusumattukayo ng'oli mulamu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era weenoonyeza ebikulu? Nedda, tobinoonya, kubanga, laba ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw'ayogera Mukama, naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy'onoogendanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe onoonya kutalizibwa? Nedda, biveeko. Nja kutuusa akabi ku bantu bonna. Naye ggwe, ndikuwa waakiri okusigaza obulamu bwo, buli gy'oliraga yonna. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era weenoonyeza ebikulu? tobinoonya: kubanga, laba, ndireeta obubi ku bonna abalina omubiri, bw'ayogera Mukama: naye obulamu bwo ndibukuwa okuba omunyago mu bifo byonna gy'onoogendanga.