Jeremiah 46:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno olunaku olwo lwa Mukama, Katonda w'Amagye, olunaku olw'okuwoolera eggwanga, okuwoolera eggwanga ku balabe be. Ekitala kirirya ne kikkuta, kirinywa omusaayi gwabwe ne kyekkya; anti Omukama Katonda w'Amagye atambidde, mu nsi y'emambuka, ku lubalama lw'omugga Furaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango. Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa, okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi. Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye, alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olunaku olwo, lunaku lwa Mukama, Mukama w'eggye, olunaku olw'okuwalanirako eggwanga, awalane eggwanga ku balabe be; n'ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta, kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina ssaddaaka gy'asalira mu nsi ey'obukiikakkono ku lubalama lw'omugga Fulaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Luno lwe lunaku lwa Mukama, Mukama Nnannyinimagye. Ku luno anaawoolera eggwanga, era anaabonereza abalabe be. Ekitala kye kinaabalya kyekkutire. Ku luno Mukama Nnannyinimagye, asalidde ekitambiro kye mu bukiikakkono, ku lubalama lw'Omugga Ewufuraate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olunaku olwo lunaku lwa Mukama, Mukama w'eggye, olunaku olw'okuwalanirako eggwanga awalane eggwanga ku balabe be: n’ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta: kubanga Mukama, Mukama w’eggye, alina ssaddaaka gy'asalira mu nsi ey'obukiika obwa kkono ku lubalama lw'omugga Fulaati.