Jeremiah 46:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga galiwulira bw'oswadde; emiranga gyo girijjula ensi, kubanga omuzira yeesittadde ku muzira munne, bombi bagudde maliri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe; emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi. Omulwanyi omu alitomera omulala bombi ne bagwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gawulidde okuswala kwo, n'ensi ejjudde okukaaba kwo; kubanga omulwanyi, yeesittadde ku mulwanyi munne, era bagwiridde wamu bombi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga gawulidde bw'oswadde, bonna bawulidde bw'okaaba. Omuserikale yeesittadde ku munne ne bagwa wamu bombi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amawanga gawulidde okuwemuka kwo, n'ensi ejjudde okukaaba kwo: kubanga omusajja ow'amaanyi yeesittadde ku w'amaanyi, bagwiridde wamu bombi.