Jeremiah 46:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo Omukama kye yagamba Yeremiya omulanzi nga kikwata ku kujja kwa Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni okulwanyisa ensi y'e Misiri:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi ebikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni okulumba Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya bwe yajja okulumba Misiri, Mukama n'aŋŋamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni bw'agenda okujja n'akuba ensi y'e Misiri.