Jeremiah 46:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukirangirire mu Misiri; mukiraalaase mu Migudoli; mukiraalaase mu Memfi n'e Takupanikesi nti: ‘Muyimirire butengerera, mwetegeke, kubanga ekitala kikavvula ababeetoolodde.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli; kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti, ‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukibuulire mu Misiri, era mulangirire mu Migudooli, era mulangirire mu Noofu ne Tapanesi, nga mwogera nti, Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; okwetaasa kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulangirire mu bibuga by'e Misiri mu Migidooli, Menfiisi ne Tapaneesi nti: ‘Mwetegeke okwetaasa. Bye mulina byonna bya kuzikirizibwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubuulire mu Misiri, mulangire mu Migudooli, era mulangire mu Noofu ne Tapanesi: mwogere nti Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna.