Jeremiah 46:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwaki Api adduse? Lwaki sseddume wo teyatala? Kubanga Omukama yamulindiggula wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi? Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki Apiisi adduse? Lwaki ennume eyo teyayimirira? Kubanga Mukama yaabasuula wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki lubaale wammwe Apiisi agudde? Mukama ye amusudde wansi.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ababo ab'amaanyi kiki ekibatwaza olw'amaanyi? tebaayimirira, kubanga Mukama ye yabagoba.