Jeremiah 46:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balyesittala emirundi n'emirundi, bangi ne bagwaŋŋanako; ne bagamba nti: ‘Musituke mugire tuddeyo, eri abantu baffe ne mu nsi yaboobwe; tudduke ekitala ky'omulumbaganyi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balyesittala emirundi egiwera; baligwiragana. Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo eri abantu baffe era n’ensi zaffe, tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abammwe bangi beesittadde ne bagwa, era buli omu n'agamba munne nti, ‘Situka tuddeyo eri abantu ab'ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu, tuwone ekitala ky'omujoozi.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale bammwe beesittadde ne bagwa! Buli omu agamba munne nti: ‘Situka tuddeyo eri ab'ewaffe, tuwone ekitala ky'omulabe!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yabeesittaza bangi, weewaawo, baagwaŋŋanako: ne boogera nti Golokoka tuddeyo eri abantu ab'ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu okuva eri ekitala ekijooga.