Jeremiah 46:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo Faraawo kabaka wa Misiri balimutuuma: ‘Aleekaana n'aleka emikisa ne giyita’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo gye baliwowogganira nti, ‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi afiiriddwa omukisa gwe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yita Falaawo kabaka w'e Misiri, erinnya nti, ‘Luyoogaano buyoogaano; Eyasubwa omukisa gwe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Misiri mumuwe erinnya: ‘Luyoogaano buyoogaano, Eyasubwa omukisa gwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baayogerera eyo nti Falaawo kabaka w'e Misiri luyoogaano buyoogaano; asobezza entuuko ezaalagirwa.