Jeremiah 46:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze nga ndi mulamu,” kabaka y'agamba, erinnya lye ye Mukama w'Amagye, “nga Tabori bw'ali mu nsozi ne Karumeli ku nnyanja, naye bw'alijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye, “Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi, nga Kulumeeri ku nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye, mazima nga Taboli bwali mu nsozi, era nga Kalumeeri ku lubalama lw'ennyanja, bw'alijja bw'atyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Nnannyinimagye, ndi Kabaka. Nze Katonda Nnannyinibulamu. Ng'Olusozi Tabori bwe lugulumidde mu nsozi, Ne Karumeeli bwe lwesimbye ku lubalama lw'ennyanja, n'amaanyi g'oyo ajja okulumba bwe galiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye, mazima nga Taboli mu nsozi era nga Kalumeeri ku lubalama lw'ennyanja, bw'alijja bw'atyo.