Jeremiah 46:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe asula mu Misiri, siba engugu y'okuwaŋŋanguka, kubanga Noofu alisigala matongo, eddungu, omutasula muntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke, mmwe abali mu Misiri kubanga Noofu kirifuuka matongo, ekiryaawo omutali bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe abantu b'e Misiri, mweesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era eddungu omutabeera bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abantu b'e Misiri mwesibirire okugenda mu busibe. Menfiisi kirifuuka matongo, eddungu omutabeera bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai omuwala abeera mu Misiri, weesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era kiryokebwa obutabaamu abeeramu.