Jeremiah 46:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Misiri: Ebikwata ku ggye lya Faraawo Neko kabaka w'e Misiri eryali okumpi n'olubalama lw'omugga Furaati, e Karucemisi, Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni lye yawangula mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikwata ku Misiri: Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebya Misiri, ebikwata ku ggye lya Falaawoneko kabaka w'e Misiri eryali ku lubalama lw'omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni lye yawangula mu mwaka ogwokuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'asookera ku Misiri. Bino bye yayogera ku ggye lya Neko kabaka wa Misiri, Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya lye yawangulira e Karukemisi, okumpi n'Omugga Ewufuraate, mu mwaka ogwokuna nga Yehoyakiimu ye kabaka wa Buyudaaya:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku Misiri: eby'eggye lya Falaawoneko kabaka w’e Misiri eryali ku lubalama lw'omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda.