Jeremiah 46:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abapangise mu ggye lye bali ng'obuyana obusavuwaze, balikuba enkyukira ne badduka kitole; tebalisobola kutala, kubanga olunaku lw'okuzikirira kwabwe lubajjidde, akadde ak'okubonerezebwa kwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abajaasi be abapangise bagezze ng’ennyana. Nabo bajja kukyuka badduke, tebaasobole kuyimirirawo, kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira, ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalwanyi be abapangise abali wakati we bali ng'ennyana ez'omu kisibo; kubanga nabo bazze emabega, baddukidde wamu, tebaayimirira; kubanga olunaku olw'okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, kye kiseera eky'okubonerezebwa kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaserikale be abapangise nabo bali ng'ennyana eziri mu kisibo, kubanga tebaayimirirawo kulwana. Baakyuka ne badduka bonna. Olunaku olw'obuyinike lubatuukiridde! Kye kiseera eky'okuzikirizibwa kwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasajja be b'agulirira abali wakati we bali ng'ennyana ez'omu kisibo; kubanga nabo bazze ennyuma, baddukidde wamu, tebaayimirira: kubanga olunaku olw'okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, ebiro eby'okujjirwa kwabwe.