Jeremiah 46:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibawaayo mu mikono gy'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, ne mu mikono gy'abagabe be. Kyokka oluvannyuma Misiri aliddamu abantu nga bwe kyabanga mu mirembe egy'edda,” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ndibagabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni, ne mu mukono gw'abaddu be. Oluvannyuma, Misiri erituulwamu abantu, nga bwe kyali mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mbaweeyo mu mikono gy'abo abaagala okubatta, mu mikono gya Nebukadunezzari kabaka wa Babilooniya n'eggye lye. Naye oluvannyuma, Misiri eriddamu okubaamu abantu, nga bwe baabeerangamu edda. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era dibagabula mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni, ne mu mukono gw'abaddu be: kale oluvannyuma erituulwamu nga mu naku ez'edda, bw'ayogera Mukama.