Jeremiah 46:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye ggwe, omuweereza wange Yakobo, leka kutya; toterebuka, ayi Yisirayeli; nzija kukulokola nkuggye ewala eyo, n'abaana bo mbaggye mu nsi y'obuwaŋŋanguse. Yakobo agenda kudda, atebenkere, abeere mu ddembe; tewaliba amukanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange; toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri. Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala, n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo. Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera, era tewali alimutiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isiraeri; kubanga, laba, ndikulokola nga nsinziira wala, era n'ezzadde lyo okuva mu nsi ey'obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo mu nsi ye, era alibeera mirembe, nga ali bulungi, so tewaliba amutiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mmwe abaweereza bange, temutya. Abayisirayeli, temweraliikirira. Ndibawonyeza gye muli ewala, mu nsi gye muli mu busibe. Mulidda mu nsi yammwe, ne mubeera mirembe nga muli bulungi, awatali abatiisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isirarei: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n'ezzadde lyo nga nnyima mu nsi y'obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo, era alitereera era alyessa, so tewaliba alimutiisa.