Jeremiah 46:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe Yakobo omuweereza wange, leka kutya, kubanga ndi naawe; Omukama y'agamba, ndizikiririza ddala amawanga gonna, gye nakusaasaanyiza, naye ggwe sirikusaanyizaawo ddala. Ndikubonereza ekisaanidde, kyokka sirikulekera awo nga sikubonerezza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Totya, ggwe Yakobo omuddu wange, kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama. “Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna gye nabasaasaanyiza, naye mmwe siribazikiririza ddala. Ndibabonereza naye mu bwenkanya; siribaleka nga temubonerezebbwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Totya ggwe, ayi Yakobo omuddu wange, bw'ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe; ndizikiriza amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndijja gye muli ne mbawonya. Ndizikiriza amawanga gonna gye nabasaasaanyiza mmwe, naye mmwe siribazikiriza. Ndibabonereza mmwe, naye mpola ne sibazikiririza ddala. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Totya gwe, ai Yakobo omuddu wange, bw’ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n'akatono nga tobonerezebbwa.