Jeremiah 46:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiki ekyo kye ndaba? Batekemuse; bazze ennyuma. Abatabaazi baabwe bakubiddwa; badduse misinde, tebatunudde na mabega. Ntiisa ku njuyi zonna. Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kiki kye ndaba? Batidde, badda ennyuma, abalwanyi baabwe bawanguddwa. Badduka mu bwangu awatali kutunula mabega, era waliwo okufa ku buli luuyi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Lwaki nkirabye? Bakeŋŋentereddwa, bazze emabega; abalwanyi baabwe baakubiddwa, era badduse mbiro, so tebatunula mabega, entiisa eri ku njuyi zonna! bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Mukama yeebuuza nti: ‘Ate kaakati ndaba ki? Batidde, bazze emabega! Abalwanyi baabwe ab'amaanyi basuuliddwa wansi. Entiisa eri ku njuyi zonna! Badduse nga tebatunula mabega!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkirabidde ki? bakeŋŋentereddwa, bazze ennyuma; n'abasajja baabwe ab'amaanyi basuuliddwa wansi, era badduse mbiro, so tebatunula nnyuma: entiisa eri ku njuyi zonna, bw'ayogera Mukama.