Jeremiah 46:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Misiri atumbiira nga Kiyira; ng'emigga egy'amazzi agabimba. Agamba nti: ‘Ka nnyambuke mbuutikire ensi; nzija kuzikiriza ebibuga n'abantu baamu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Misiri eyimuka nga Kiyira, ng’emigga egy’amazzi agabimba. Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna. Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Misiri yasituka nga Kiyira, ng'emigga egy'amazzi agaalaala; Misiri yagamba nti, N'agolokoka, nabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ebibuga n'abo ababituulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Misiri ye ayambuka nga Kiyira omugga ogw'amazzi agaalaala!’ Misiri yagamba nti: ‘Ndyambuka mbuutikire ensi, ndizibikira ebibuga n'ababibeeramu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Misiri yagolokoka nga Kiyira, n'amazzi ge geesuukunda ng'emigga: naayogera nti Naagolokoka, naabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ekibuga n'abo abakituulamu.