Jeremiah 47:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Amazzi gaago gabimba okuva emambuka; galiba ng'engezi ey'omujjuzi. Galibuutikira ensi yonna na buli kirimu, n'ebibuga n'abantu ababirimu. Abantu balikuba ebiwoobe, bonna abali mu nsi balitema emiranga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono, galifuuka omugga ogwanjaala. Galyanjaala ku nsi ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu. Abantu balikaaba; bonna abali mu nsi baliwowoggana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Laba, amazzi gatumbiira agava obukiikakkono, era galifuuka mugga ogwanjaala, era galyanjaala ku nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu; n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi balikungubaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Mulabe, amazzi gatumbiira mu bukiikakkono. Galiba ng'omugga ogwanjaala ne gubikka ensi n'ebigiriko byonna, ebibuga n'ababirimu. Abantu balireekaana, abali ku nsi bonna balikuba ebiwoobe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, amazzi gatumbiira agava obukiika obwa kkono, era galifuuka omugga ogwanjaala, era galyanjaala mu nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu: n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi baliwowoggana.