Jeremiah 47:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ku musinde gw'ebinuulo ebiguluka, ku kududuma kw'ebigaali by'omulabe, ne ku kuwuluguma kwa nnamuziga ze. Bakitaabwe b'abaana tebarikyukira gye bali, emikono nga gibalagaye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe era n’okuwuuma kwa nnamuziga, bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe, emikono gyabwe gya kulebera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'omusinde gw'ebinuulo by'embalaasi, n'okuwulukuka kw'amagaali ge, n'okuvuuma kwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebaava balema okutunula emabega eri abaana baabwe, olw'okuba emikono gyabwe gifuuse minafu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliwulira omusinde gw'ebinuulo by'embalaasi, n'okuwuluguma kw'amagaali, n'okwekulula kwa zinnamuziga. Bakitaabwe b'abaana tebalitunula mabega kulabirira baana abo. Balitekena emikono nga giweddemu amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'emisinde gy'okusamba kw'ebinuulo by'ensolo ze ez'amaanyi, olw'okuwuluuka kw'amagaali ge, olw'okuvuuma okwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebava balema okutunula ennyuma eri abaana baabwe, emikono gyabwe lw'okuba eminafu;