Jeremiah 47:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olunaku olwo luzze, okuzikiriza Abafilisitiini bonna; n'okukutulako buli yenna awonyeewo, eyandidduukiridde Tiiro ne Sidoni. Anti Omukama azikiriza Abafilisitiini, abawonyeewo mu bizinga by'e Kafutori.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga olunaku lutuuse okuzikiriza Abafirisuuti bonna, n’okusalako bonna abandisigaddewo abandiyambye Ttuulo ne Sidoni. Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olw'olunaku olujja okuzikiriza Abafirisuuti, n'okusala ku Ttuulo ne Sidoni buli muyambi asigaddewo; kubanga Mukama alizikiriza Abafirisuuti, abasigaddewo ku kizinga Kafutooli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kisembedde okuzikiriza Filistiya, okumala ku Tiiro ne Sidoni obuyambi obusigaddewo. Nze Mukama ndizikiriza Abafilistiya bonna abasigaddewo ku kizinga Kafutoori.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olw'olunaku lujja okunyaga Abafirisuuti, okumalawo ku Ttuulo ne Sidoni buli mubeezi asigaddewo: kubanga Mukama alinyaga Abafirisuuti, ekitundu ekifisseewo eky'ekizinga Kafutoli.