Jeremiah 47:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiwalaata kiridde Gaza; Asukeloni bamusirisizza; mmwe abawonyeewo mu Akimu, onootuusa wa okwesala emisale?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga. Asukulooni alisirisibwa. Ggwe eyasigala mu kiwonvu, olituusa ddi okwesalaasala?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu be Gaza bamweddeko enviiri zaabwe olw'okukungubaga; Asukulooni amaliddwawo. Mmwe ekitundu ekifisseewo ab'omu kiwonvu mulituusa wa okwesala?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Gaaza bamweddeko enviiri! Ab'e Asukelooni basirisiddwa! Abafilistiya abasigaddewo balituusa wa okukungubaga?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gaza aliko ekiwalaata; Asukulooni amaliddwawo, ekitundu ekifisseewo ku kiwonvu kyabwe: olituusa wa okwesala?