Jeremiah 47:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mwattu kitala kya Mukama, ggwe onooweerako ddi? Ddayo mu kiraato kyo; wummula, osirike.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba, obudde bunaatuuka ddi owummule? Ddayo mu kiraato kyo sirika teweenyeenya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi ggwe ekitala kya Mukama! Olituusa wa obutatereera? Ddayo mu kiraato kyo, wummula osirike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleekaane nti: ‘Kitala kya Mukama, oliwummulako ddi? Ddayo mu kiraato kyo, owummule osirike!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai ggwe ekitala kya Mukama, olituusa wa obutatereera? weeteke mu kiraato kyo; wummula osirike.