Jeremiah 48:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku Mowabu: Omukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: “Zimusanze Nebo, kubanga bakyayizza! Kiriyatayimu kiswaziddwa, ne kiwambibwa; ekigo kiswadde, kimenyeddwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikwata ku Mowaabu: Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, “Zikisanze Nebo, kubanga kijja kuzikirizibwa, Kiriyasayimu kiswale kiwambibwe, ekigo eky’amaanyi kijja kuswala kimenyebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikwata ku Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti, “Zisanze Nebo! Kubanga kizikiriziddwa; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa; ekigo kyakyo kikwasibbwa ensonyi, era kisuliddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama Nnannyinimagye bye yayogera ku Mowaabu: “Zibasanze ab'e Nebo, ekibuga kyabwe kizikiriziddwa! Kiriyatayiimu kiwambiddwa, ekigo kyakyo ekigumu kimenyeddwa, abantu baamu ne baswazibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebya Mowaabu. Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Zisanze Nebo! kubanga bakizisizza; Kiriyasayimu kikwasibbwa ensonyi, kimenyeddwa: Misugabu kikwasibbwa ensonyi, kisuuliddwa.