Jeremiah 48:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mowabu abadde mu ddembe okuva obuvubuka, ateekedde ku bbonda lye; tafukwangako kuva mu kita kimu kudda mu kirala, tagendangako mu buwaŋŋanguse; akyasigazizza okuwooma kwe, n'akawoowo ke tekakyukangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mowaabu abadde mirembe okuva mu buvubuka bwe, nga wayini gwe batasengezze, gwe bataggye mu kibya ekimu okumuyiwa mu kirala, tagenzeko mu buwaŋŋanguse. Kale awooma ng’edda, n’akawoowo ke tekakyukanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mowaabu bulijjo abadde mu mirembe, tebatwalibwangako mu busibe. Balinga omwenge gwe batasengezze ebbonda lyagwo, nga teguttululwa kuva mu kita okudda mu kirala, obuwoomi bwagwo ne butayonooneka n'akatono, n'akawoowo kagwo, ne kasigala nga kalungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abamowaabu baabeeranga mirembe bulijjo. Tebatwalibwangako mu busibe. Bali ng'omwenge ogulekeddwa okuteeka, nga teguttululwa kuva mu nsuwa kudda mu ndala, obuwoomi bwagwo ne butayonooneka n'akatono, n'akawoowo kaagwo, ne kasigala nga kalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mowaabu yessizza okuva mu buto bwe, era teyeesengezze ebbonda lye, tattululirwanga mu bita so tagendanga mu busibe: ensa ye kyeva ebeera mu ye, n'akawoowo ke tekajjulukukanga.