Jeremiah 48:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye nno ennaku zijja, Omukama y'agamba, lwe nzija okusindika abafukumula ebita bamufukumulemu; balikaliza ebita bye, baaseeyase n'ensumbi ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndituma basajja bange abaggya wayini mu bibya, era balimuyiwa ebweru; balittulula ensuwa ze baase n’ebibya bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe nditumira abo abattulula, kale balimuttulula, era balimalamu ebintu bye, ne bamenyamenya ensuwa ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano, ekiseera kituuse ntume abanattulula Mowaabu ng'omwenge. Balittulula ensuwa ze, zikale era bazaaseeyase.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndimutumira abo abattulula, kale balimuttulula; era balimalamu ebintu bye, ne bamenyaamenya ensuwa zaabwe.