Jeremiah 48:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mowabu asaanyeewo, ebibuga bye birizindibwa; abavubuka be abasinga obulungi bafiiridde mu kusanjagibwa, Omukama y'agamba, Omukama w'Amagye lye linnya lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mowaabu alizindibwa n’ebibuga bye ne bizikirizibwa; abavubuka be abato bagende battibwe,” bw’ayogera Kabaka, erinnya lye ye Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzikiriza wa Mowaabu n'ebibuga bye, azze, era n'abalenzi be abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi Mowaabu ezikiriziddwa n'ebibuga byayo. Abavubuka baayo embulakalevu nabo batirimbuddwa. Nze Kabaka, Nze njogedde, Mukama Nnannyinimagye!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mowaabu bamuzisizza, era batabadde ebibuga byayo, n'abalenzi baayo abalonde baserengese okuttibwa, bw'ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w'eggye.