Jeremiah 48:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wanukayo mu kitiibwa kyo, otuule ku ttaka ekkalu, ggwe muwala wa Diboni! Kubanga azikiriza Mowabu akujjiridde; amenye ebigo byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukke muve mu kitiibwa kyammwe mutuule ku ttaka, mmwe abatuuze b’Omuwala w’e Diboni, kubanga oyo azikiriza Mowaabu alibajjira azikirize ebibuga byammwe ebya bbugwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Serengeta ove mu kitiibwa kyo, era otuule mu nfuufu gwe atuula mu Diboni! Kubanga omuzikiriza wa Mowaabu atuuse, azikirizza ebigo byo eby'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe ababeera mu Diboni, muve mu kifo ekyekitiibwa, mukke wansi mu nfuufu, kubanga azikiriza Mowaabu atuuse, azikirizza ebigo byammwe!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai ggwe omuwala, atuula mu Diboni, serengeta ove ku kitiibwa kyo, otuule ng'olumiddwa ennyonta; kubanga omunyazi wa Mowaabu akutabadde, azikirizza ebigo byo.